Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso
1 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. 2 Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, "Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?"
3 Yesu n’addamu nti, "Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4 Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. 5 Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi."
6 Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. 7 N’amugamba nti, "Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu," amakulu nti, "Eyatumibwa". Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, "Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?" 9 Abamu ne bagamba nti, "Ye ye," abalala ne bagamba nti, "Nedda, anaamufaanana bufaananyi." Kyokka ye n’abagamba nti, "Ye nze ddala." 10 Bo kwe ku mubuuza nti, "Kale amaaso go gaazibuse gatya?" 11 N’abategeeza nti, "Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba."
12 Ne bamubuuza nti, "Ali ludda wa?" N’addamu nti, "Simanyi."