Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso
1 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. 2 Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, "Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?"
3 Yesu n’addamu nti, "Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4 Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. 5 Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi."
6 Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. 7 N’amugamba nti, "Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu," amakulu nti, "Eyatumibwa". Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.