Pular para o conteúdo
Publicidade

Yobu 1:4,5,18,19

4 Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. 5 Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;1:5 Etteeka lya Musa nga terinnabaawo, omukulu w’ennyumba ye yabanga kabona w’ennyumba ye. yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, "Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe." Kino yakikolanga bulijjo.

18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, "Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.