Publicidade

Jó 28

12 "Naye amagezi gasangibwa wa?

Okutegeera kuva wa?

13 Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;

tegasangibwa mu nsi y’abalamu.

14 Obuziba bwogera nti, Tegali mu nze,

ennyanja eyogera nti, Tegali mu nze.

15 Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,

wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.

16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,

mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.

17 Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:

so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.

18 Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;

omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.

19 Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,

tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 "Kale amagezi gava ludda wa?

N’okutegeera kubeera ludda wa?

21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,

era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.

22 Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,

Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-