Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 14

Yesu Awonya Omulwadde w’Entumbi ku Ssabbiiti

1 Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. 2 Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. 3 Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, "Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?" 4 Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.

Veja também