Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza
35 Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, "Kiki ekyo?" 37 Ne bamuddamu nti, "Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo."
38 Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, "Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!" 39 Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, "Omwana wa Dawudi, onsaasire!"
40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41 "Kiki ky’oyagala nkukolere?" Omusajja n’addamu nti, "Mukama wange, njagala nziremu okulaba!" 42 Yesu n’amugamba nti, "Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza." 43 Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.