4 Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, 5 yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. 6 Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. 7 N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.
Publicidade
Publicidade