40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, "N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze."
42 N’alyoka agamba nti, "Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo."
43 Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda."