Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 5

Abayigirizwa Abaasooka

1 Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti5:1 ye Nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, 2 n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. 3 Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.

4 Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, "Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!"

5 Simooni n’addamu nti, "Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba."

6 Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. 7 Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.

8 Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, "Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo." 9 Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, 10 Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.

Yesu n’amuddamu nti, "Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu." 11 Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.

Veja também