Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 6

Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze

6 Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. 7 Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. 8 Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, "Situka oyimirire wakati wano." N’asituka n’ayimirira.

9 Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, "Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?"

10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, "Golola omukono gwo." Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona.

Veja também