Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 7

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

1 Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu. 2 Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa. 3 Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. 4 Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, "Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye, 5 kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!" 6 Bw’atyo Yesu n’agenda nabo.

Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, "Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. 7 Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona! 8 Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, Genda,agenda, n’omulala nti, Jjangu,ajja; n’omuddu wange nti, Kola kino,akikola."

9 Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, "Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri." 10 Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.

Veja também