Pular para o conteúdo
Publicidade

Lucas 7

Yesu Anenya ab’omu Biseera bye

31 Awo Yesu n’abuuza nti, "Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya? 32 Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti,

" Bwe twabafuuyira omulere,

temwazina,

Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga,

temwakungubaga.

33 Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, Aliko dayimooni! 34 Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi! 35 Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna."

Omukazi Alina Ebibi Asiiga Yesu Amafuta ag’Akaloosa

36 Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza. 37 Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.

Veja também