35 "Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. 36 Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.
Publicidade
Publicidade