Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. "Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere."
36 N’ababuuza nti, "Kiki ekyo?"
37 Ne bamuddamu nti, "Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?"