Publicidade

Marcos 11

1 Awo Yesu n’abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Besufaage ne Besaniya ebiriraanye Yerusaalemi, nga batuuse ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n’atuma abayigirizwa be babiri babasooke mu maaso. 2 N’abalagira nti, "Mugende mu kyalo ekituli mu maaso, bwe munaaba mwakakituukamu mujja kulaba omwana gw’endogoyi oguteebagalwangako nga gusibiddwa awo. Mugusumulule mugundeetere wano. 3 Era omuntu yenna bw’ababuuza gye mugutwala, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’agwetaaga, era tujja kugukomyawo mangu.’ "

4 Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula, 5 abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, "Abange, omwana gw’endogoyi, musumulula gwa ki?" 6 Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala. 7 Omwana gw’endogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu n’agwebagala. 8 Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo. 9 Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti:

"Ozaana!"

"Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama!"

10 "Atenderezebwe olw’okukomyawo obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi n’okubuwa omukisa!"

"Ozaana! Ayi ali waggulu ennyo!"

11 Awo Yesu n’atuuka mu Yerusaalemi, n’ayingira mu Yeekaalu. N’atunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, n’afuluma n’agenda e Besaniya n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-20_17-16-08-