Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 11

Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala

20 Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 21 Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, "Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!"

22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkiririze mu Katonda. 23 Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, Siguka ogwe mu nnyanja,n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 24 Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli. 25 Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.

Veja também