24 "Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,
" ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
era n’omwezi teguliyaka,
25 era, emmunyeenye zirikunkumuka,
n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ "
26 "Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 27 Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma."