22 Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange."
23 Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
24 N’abagamba nti, "Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 25 Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda."