Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 4

3 "Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. 4 Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. 6 Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. 7 Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. 8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi."

9 N’abagamba nti, "Oyo alina amatu agawulira awulire."

Veja também