Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 4

37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?"

39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, "Tteeka, sirika." Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

40 N’ababuuza nti, "Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?"

41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, "Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"

Veja também