Pular para o conteúdo
Publicidade

Makko 5

35 Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, "Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza."

36 Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, "Totya, ggwe kkiriza bukkiriza."

37 Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. 38 Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. 39 Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, "Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!" 40 Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.

Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. 41 Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, "Talisa kumi!" amakulu nti, "Omuwala golokoka!" 42 Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. 43 Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.

Veja também