38 Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. 39 Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, "Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!" 40 Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.
Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. 41 Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, "Talisa kumi!" amakulu nti, "Omuwala golokoka!" 42 Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.