Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 6

22 Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga.

Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, "Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa." 23 Era n’ayongera okumulayirira nti, "Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!"

24 Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, "Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!"

25 Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, "Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!"

26 Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe. 27 Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe, 28 n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina.

Veja também