11 Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani7:11 Korubaani kitegeeza ekintu ekyawuddwako okuweebwa Katonda. Korubaani kyakozesebwanga mu mateeka ga Musa okukubiriza abaana okufaayo ku bazadde baabwe, ate n’abayigiriza b’amateeka baakozesanga ekirayiro kya Korubaani okufuga abagoberezi baabwe.’ " 12 "Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina. 13 Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola."
Ebyonoona Omuntu
14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, "Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.