Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 9

17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, "Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa."

19 Yesu n’agamba nti, "Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano."

20 Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.

21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, "Kino kimaze bbanga ki?" Kitaawe n’addamu nti, "Okuviira ddala mu buto. 22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire."

23 Yesu n’amuddamu nti, "Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza."

24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, "Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!"

25 Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, "Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga."

26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.

Veja também