Publicidade

Mateus 1

20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, "Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, Omulokozi) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe."

22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 "Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri." Amakulu gaalyo nti, "Katonda ali naffe."

24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-