10 Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.12:10 Okuwonyezebwa ku Ssabbiiti kyali tekikkirizibwa bayigiriza b’amateeka okuggyako nga kirowoozebwa okuba ng’omuntu oyo omulwadde taalame okutuusa enkeera. Omusajja eyali akozimbye omukono yali tagenda kufa ku lunaku olwo lwennyini wadde enkeera Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.
11 Naye n’abaddamu nti, "Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti."
13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, "Golola omukono gwo." N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!