Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 13

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

" Muliwulira naye temulitegeera

n’okulaba muliraba naye temulimanya.

15 Kubanga omutima gw’abantu bano

gwesibye,

n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.

N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,

wadde omutima gwabwe okutegeera,

ne bakyuka

ne mbawonya.

16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira.

Veja também