32 Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, "Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo."
33 Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?"
34 Yesu n’ababuuza nti, "Mulinawo emigaati emeka?" Ne bamuddamu nti, "Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono."
35 Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 36 n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 37 Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38 Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.