Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 20

Yesu Azibula Bamuzibe Babiri

29 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 30 Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, "Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!"

31 Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, "Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire."

32 Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, "Mwagala mbakolere ki?"

33 Ne bamuddamu nti, "Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso."

34 Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também