Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 21

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, "Toddangayo okubala ebibala." Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, "Omutiini guwotose gutya amangu?"

21 Yesu n’abaddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, Siguka ogwe mu nnyanja,ne kibaawo. 22 Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga."

Veja também