Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 24

45 "Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, Mukama wange tajja kudda mangu, 49 n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também