Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 3

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

1 Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, 2 "Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka." 3 Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

"Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,

Mulongoose oluguudo lwa Mukama,

muluŋŋamye amakubo ge!’ "

4 Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. 5 Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. 6 N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

Veja também