2 Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, "Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!"
3 Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, "Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!"
4 Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, "Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? 5 Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. 6 Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi." Awo n’agamba akoozimbye nti, "Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!" 7 N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka.