Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 9

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

27 Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, "Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!"

28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, "Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?" Ne bamuddamu nti, "Weewaawo, Mukama waffe."

29 Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, "Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa." 30 Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, "Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo." 31 Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

Veja também