Publicidade

Naum 3

Ebibi bya Nineeve

1 Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!

Kyonna ekijjudde eby’obulimba

n’obunyazi,

ekitaggwaamu banyagiddwa.

2 Muwulire okuvuga kw’embooko,

n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali

n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga

n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!

3 Laba eggye ery’embalaasi erirumba,

n’ebitala ebitemagana,

n’amafumu agamyansa.

Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,

ne ntuumu ennene ez’emirambo

egitamanyiddwa muwendo;

abantu bagirinnyirira.

4 Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,

kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,

ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,

n’olw’obulogo bwakyo.

5 "Laba nkwolekedde," bw’ayogera Mukama ow’Eggye,

"era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.

Ensi zonna ziriraba obwereere bwo

n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.

6 Ndikukanyugira kazambi,

era ndikufuula ekyenyinyalwa

ne nkufuula eky’okwelolera.

7 Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,

‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’

Abalikikubagiza baliva wa?"

8 Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi

ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira

ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?

Olukomera lwakyo gwali mugga

era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.

9 Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.

Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.

10 Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.

Abakungu baakyo baakubirwa obululu,

n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.

11 Nineeve naawe olitamiira,

olyekweka

ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

12 Ebigo byo byonna biri ng’emitiini

egiriko ebibala ebisooka okwengera;

bwe ginyeenyezebwa

ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.

13 Laba abalwanyi bammwe balinafuwa

ne batiitiira ng’abakazi.

Enzigi z’ensi yo

nzigule eri abalabe bo.

Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

14 Weenyweze bajja kukulumba!

Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.

Nyweza ebisenge byo.

Noonya ettaka olisambe

oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.

15 Omuliro gulikulya,

ekitala kirikuzikiriza.

Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.

Mweyongere obungi ng’enseenene,

mwale ng’enzige.

16 Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe

okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.

Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi

ne ziryoka zibuuka.

17 Abakuumi bammwe bali ng’enzige,

n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige

ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.

Enjuba bw’evaayo zibuuka

ne ziraga etamanyiddwa.

18 Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,

n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.

Abantu bo basaasaanira ku nsozi

nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.

19 Tewali kisobola kuwonya

kiwundu kyo ekinene bwe kityo.

Bonna abawulira ebikuguddeko

bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.

Ani ataakosebwa

olw’ettima lyo eringi?

Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

Veja também

Publicidade
Naum
Ver todos os capítulos de Naum
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-