Nekkemiya Alambula Bbugwe wa Yerusaalemi
11 Ne ntuuka e Yerusaalemi, ne mbeerayo ennaku ssatu, 12 ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula n’abamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu n’omu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda n’ensolo emu yokka gye nnali neebagadde.
13 Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu2:13 Omulyango ogwo gwali ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa bbugwe wa Yerusaalemi. ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa,2:13 Omulyango ogw’Obusa gw’omulyango Abayudaaya gwe baagoberangamu ensolo ez’ekiweebwayo, nga bazitwala mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu (laba 3:13-14; 2Bk 23:10). ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro. 14 N’oluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogw’Oluzzi n’eri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange n’eteyinza kuyitawo. 15 Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu. 16 Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, n’abalala abaali bateekwa okukola omulimu.