Koseya Addiŋŋana ne Mukazi we
1 Mukama n’aŋŋamba nti, "Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala."
2 Awo ne mmugula n’effeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri. 3 Bwe ntyo ne mugamba nti, "Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe."