Pular para o conteúdo
Publicidade

Provérbios 1

Okulabula Eri Abanyooma Amagezi

20 Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;

gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.

21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,

era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:

22 Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,

nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?

23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,

laba, ndifuka omutima gwange

n’ebirowoozo byange mu mmwe.

Veja também