19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
n’abalulunkanira ennyama:
21 Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
22 Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.