10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
obulamu bwe bwonna.
13 Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15 Agolokoka tebunnakya,
n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;
asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.