Pular para o conteúdo
Publicidade

Abaruumi 15

7 Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 8 Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 9 n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,

"Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,

era ne ntendereza erinnya lyo."

10 Era n’ayongera n’agamba nti:

"Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be."

11 Era nate nti,

"Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,

era abantu bonna bamutenderezenga."

12 Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,

"Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja

era alisituka okufuga Abaamawanga,

era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também