Publicidade

Rute 1

8 Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, "Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina1:8 Abawala ne bannamwandu baabeeranga ne bannyaabwe (Lub 24:28, 67). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11)., era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 9 Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala." N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10 nga bagamba nti, "Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo." 11 Naye Nawomi n’abagamba nti, "Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe1:11 Ekyo kyogera ku mpisa y’Ekiyudaaya egamba nti nnamwandu atalina mwana ateekwa kufumbirwa muganda w’omugenzi bba (Lub 38:6-8; Ma 25:5-10). 12 Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 13 mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange."

14 Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.

Veja também

Rute
Ver todos os capítulos de Rute
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-