Pular para o conteúdo
Publicidade

Zeffaniya 1

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;

ddala lunaatera okutuuka.

Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,

n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

15 Olunaku olwo lunaku lwa busungu,

lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,

lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,

olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,

olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;

16 olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo

ku bibuga ebiriko ebigo

n’eri eminaala emigulumivu.

17 Ndireeta, obuyinike ku bantu,

batambule ng’abazibe b’amaaso,

kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,

omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,

n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.

18 Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe

tebiriyinza kubataasa

ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa

omuliro gw’obuggya bwe,

era alimalirawo ddala

abo bonna abali mu nsi.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também

Sofonias
Ver todos os capítulos de Sofonias