Publicidade

Sofonias 2

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

1 Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,

mmwe eggwanga eritalina nsonyi,

2 ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,

olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,

obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,

ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.

3 Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,

abakola by’alagira;

munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;

mpozzi mulikwekebwa

ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

4 Gaza kirirekebwawo,

ne Asukulooni kiriba matongo:

abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,

ne Ekuloni kirisimbulibwa.

5 Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,

eggwanga ery’Abakeresi!

Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,

ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.

Ndikuzikiriza

so tewaliba asigalawo.

6 Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera

luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.

7 Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo

era we banaalundiranga,

ne mu nnyumba za Asukulooni

mwe banaagalamiranga akawungeezi.

Mukama Katonda waabwe alibalabirira,

n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

8 Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu

n’okusekerera kw’Abamoni

kwe bavumye abantu bange

ne batiisatiisa ensi yaabwe.

9 Kale nga bwe ndi omulamu,

bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,

ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,

n’abaana ba Amoni nga Ggomola,

ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,

amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,

n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,

kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.

11 Mukama aliba wa ntiisa gye bali

bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.

Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,

buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono

n’azikiriza Obwasuli;

n’afuula Nineeve amatongo

era ekikalu ng’eddungu.

14 Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,

n’ensolo zonna eza buli kika:

ekiwuugulu era ne nnamunnungu

banaasulanga ku mpagi zaakyo.

Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;

kafakalimbo ajjudde mu miryango,

n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.

15 Kino kye kibuga ekya kyetwala,

ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,

Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:

nga kifuuse bifulukwa,

ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!

Buli muntu akiyitako aneesoozanga

n’akinyoomoola.

Veja também

Publicidade
Sofonias
Ver todos os capítulos de Sofonias
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-