12 Ne ndyoka mbagamba nti, "Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo." Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
13 Awo Mukama n’aŋŋamba nti, "Zisuulire omubumbi," omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.