Publicidade

Amigo

Por Bíblia Online

O amigo verdadeiro é dádiva rara de Deus. Ele ama em todo tempo, fala a verdade em amor, aconselha com sabedoria e permanece fiel nas adversidades da vida.

Amizade verdadeira

Há amigo mais chegado que um irmão. Em todo tempo ama o amigo. O perfume e o incenso alegram o coração — assim o conselho doce do amigo.

Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,

naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.

Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,

era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.

Ebyakaloosa bisanyusa omutima,

n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.

Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,

n’omuntu bw’abangula muntu munne.

Okunenya mu lwatu,

kisinga okwagala okukisibbwa.

Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,

naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.

Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,

olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.

Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.

Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,

naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.

Tokwananga muntu wa busungu,

oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,

oleme okuyiga amakubo ge

ne weesuula mu mitawaana.

Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,

naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?

Obugagga buleeta emikwano mingi,

naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

Jesus, o amigo

Já não vos chamo servos, mas amigos. O maior amor é dar a vida pelo amigo. Jesus é o amigo que nunca falha.

Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba.

Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.

Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye? Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, "Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda."

nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,

Companheiros de fé

Dois são melhores do que um. Os companheiros de fé se fortalecem mutuamente e caminham juntos com o Senhor.

Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,

abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni

ne gakulukutira mu kirevu;

gakulukutira mu kirevu kya Alooni,

ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.

Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,

ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;

kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa

n’obulamu emirembe gyonna.

Ntambula n’abo abakutya,

abo bonna abakwata amateeka go.

Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka.

Temulimbibwalimbibwanga, kubanga "emikwano emibi gyonoona empisa ennungi."

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-