Pular para o conteúdo
Publicidade

Zabbuli 137

1 Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,

ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.

2 Ne tuwanika ennanga zaffe

ku miti egyali awo.

3 Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,

abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;

nga bagamba nti, "Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni."

4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama

mu nsi eteri yaffe?

5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,

omukono gwange ogwa ddyo gukale!

6 Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange

singa nkwerabira,

ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako

okusinga ebintu ebirala byonna.

7 Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,137:7 Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu

ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;

ne baleekaana nti, "Kisuule,

kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo."

8 Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,

yeesiimye oyo alikusasula ebyo

nga naawe bye watukola.

9 Yeesiimye oyo aliddira abaana bo

n’ababetentera137:9 Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi ku lwazi.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também