Publicidade

Salmos 9

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

1 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;

nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.

2 Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.

Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,

beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.

4 Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;

era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.

5 Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;

erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.

6 Abalabe obamaliddewo ddala,

n’ebibuga byabwe obizikirizza,

era tewali aliddayo kubijjukira.

7 Naye Mukama afuga emirembe gyonna;

era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.

8 Aliramula ensi mu butuukirivu,

era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.

9 Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;

era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

10 Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;

kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;

mutegeeze amawanga gonna by’akoze.

12 Ajjukira n’awoolera eggwanga

era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,

onzigye ku miryango gy’okufa.

14 Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu

mu miryango gy’omuwala wa Sayuuni:

era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;

era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.

16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.

Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.

17 Ababi balisuulibwa emagombe;

ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.

18 Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,

era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;

leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.

20 Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;

amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-