Publicidade

Salmos 138

Zabbuli Ya Dawudi.

1 Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;

ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.

2 Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,

ne ntendereza erinnya lyo

olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;

kubanga wagulumiza ekigambo kyo

n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.

3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;

n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

4 Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,

nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.

5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;

kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

6 Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,

naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.

7 Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,

naye ggwe okuuma obulamu bwange;

ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,

era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.

8 Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;

kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.

Tolekulira ebyo bye watonda.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-16_06-50-08-